Luke 16:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'agamba omulala nti: ‘Ate nga ggwe, obanjibwa ki?’ Ye n'agamba nti: ‘Ensawo z'eŋŋano kikumi.’ N'amugamba nti: ‘Kwako ekiwandiiko, owandiike kinaana.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuwanika n’adda ku wookubiri n’amubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’ “N’addamu nti, ‘Ebigera by’obuwunga bw’eŋŋaano kikumi.’ ” “Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate nnaagamba omulala nti, ‘Naawe obanjibwa ki?’ N'agamba nti, ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana (80).’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo n'agamba omulala nti: ‘Ate ggwe obanjibwa ki?’ N'addamu nti ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa, owandiike kinaana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ate n'agamba omulala nti Naawe obanjibwa ki? N'agamba nti Emitwalo gy'eŋŋaano kikumi. N'amugamba nti Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana.