Luke 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwami n'atenda omuwanika omulyazaamaanyi olw'obukujjukujju bwe. Kubanga abaana b'ensi mu luse lwabwe babeera bakalabakalaba okusinga abaana b'ekitangaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omukumpanya kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo omuwanika ono omukumpanya n'atendebwa mukama we olw'amagezi ge yasala. Abantu ab'ensi bagezigezi okusinga abantu ab'ekitangaala, mu nkolagana yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omulyazaamaanyi kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana.