Luke 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nange mbagamba nti: Mwegunjire emikwano nga mukozesa obugagga obubi, bwe bulimala okubaggwaako, balyoke babaanirize mu bisulo eby'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbagamba nti mwefunire emikwano nga mugaba ku bugagga obw'ensi, bwe buliba nga tebukyagasa, mulyoke mwanirizibwe mu maka ag'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo.