Luke 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe nno bwe mutyo; bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baweereza ntagasa; bye tubadde tulagirwa okukola bye tukoze.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti, ‘ Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe kye kimu. Bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baddu buddu. Bye tubadde tuteekwa okukola, bye tukoze.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.