Luke 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bayogerera waggulu nga bagamba nti: “Yezu, Muyigiriza, tusaasire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “ Yesu, Mukama waffe, otusaasire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne boogerera waggulu ne bagamba nti Yesu, Mukama waffe, otusaasire.