Luke 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo okussibwa mu bulago bwe n'asuulibwa mu nnyanja, aleme kuleetera kyesittazo omu ku bato bano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waakiri oyo okusibibwa olubengo mu bulago bwe, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga okwesittaza omu ku abo abato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyandimubeeredde kirungi okusibibwa ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga lw'aleetera omu ku bato bano okukola ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waakiri oyo okusibwa olubengo mu bulago bwe, okusuulibwa mu nnyanja, okusinga okusittaza omu ku abo abato.