Luke 17:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Abafarisaayo ne bamubuuza obwakabaka bwa Katonda we bulituukira; n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja mu ngeri erabika;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” N'abaddamu n'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafarisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi, n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweraga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bujja ddi? n'abaddamu n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese: