Luke 17:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'agamba abayigirizwa nti: “Ennaku zijja ze mulyegomberamu okulaba olunaku olumu olw'Omwana w'Omuntu, ne mutalulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba abayigirizwa be nti, “Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Ekiseera kirituuka ne mwegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'Omuntu, kyokka temulirulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba abayigirizwa be nti Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba.