Luke 17:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ng'ekimyanso bwe kimyansa ne kimulisa olubaale okuva ku luuyi olumu okutuusa ku lulala, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu ku lunaku lwe bw'alibeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ng'okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oluuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ku ludda olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oludda olulala, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba bw'atyo ku lunaku lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, nga bwe kumasamasiza ne ku luuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe.