Luke 17:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali balya nga banywa, nga bawasa, nga bafumbizibwa, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo; omujjuzi ne gujja ne gubazikiriza bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baali balya era nga banywa, baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato, omujjuzo ne gujja, ne guzikiriza bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.