Luke 17:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu kaseera ako, aliba ku kasolya waggulu, ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubitwala; era n'abeeranga mu nnimiro naye bw'atyo; taddanga mabega.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga mabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olwo, omuntu aliba waggulu ku kasolya k'ennyumba, ng'ebintu bye biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu. Oyo aliba mu nnimiro naye bw'atyo, taddanga mabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga nnyuma.