Luke 17:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bo kwe kumubuuza nti: “Ludda wa, Mukama?” Ye n'abagamba nti: “Omulambo we gubeera n'ensega we zikuŋŋaanira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega we zirikuŋŋaanira!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti, “ Awaba omulambo n'ensega we zikuŋŋaanira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti: “Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddamu ne bamugamba nti Wa, Mukama waffe? N'abagamba nti Awaba omulambo eyo n'ensega we zirikuŋŋaanira.