Luke 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bw'asobyanga gy'oli emirundi musanvu mu lunaku lumu, emirundi omusanvu egyo n'ajja gy'oli ng'agamba nti: ‘Mmoneredde,’ omusonyiwanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi egyo omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa akukola ekibi emirundi musanvu mu lunaku olumu, era buli mulundi n'ajja gy'oli n'agamba nti: ‘Neenenyezza,’ oteekwa okumusonyiwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.