Luke 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Singa mwalina okukkiriza okwenkana ng'empeke ya kaladaali, mwandigambye omuti gw'omukunyu guno nti: ‘Weesindule, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama waffe n'agamba nti, “ Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama waffe n'addamu nti: “Singa mulina okukkiriza okutono ng'akasigo ka kaladaali, mwandigambye omuti ogw'enkenene guno nti: ‘Simbuka, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama waffe n'agamba nti Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.