Luke 17:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ani mu mmwe, bw'abeera n'omuweereza alima oba alunda, amugamba nga yaakava mu nnimiro nti: ‘Yingira mangu, otuule, olye?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu otuule olye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ani ku mmwe aba n'omuddu alima oba alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu nnimiro, amugamba nti: ‘Jjangu otuule olye,’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu ago otuule olye;