Luke 18:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omufarisaayo n'ayimirira n'asoma munda ye nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri ng'abantu abalala, abalyazaamaanyi, ababi, abenzi; era siri ng'omusolooza w'omusolo oyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti, ‘Ayi Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omufarisaayo n'ayimirira, n'asinza Katonda mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri nga bantu balala, abanyazi, abakumpanya, abenzi. Era siri ng'omusolooza w'omusolo ono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza.