Luke 18:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bamuleetera abaana abawere abakwateko; naye abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne babakomako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, kyokka abayigirizwa bwe baabalaba, ne babaziyiza nga bababoggolera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baleeta n'abaana abato w'ali, okubakomako: naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera.