Luke 18:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yezu n'abayita w'ali, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti, “ Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'ayita abaana abo ng'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gyendi, temubaziyiza, kubanga abafaanana nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.