Luke 18:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiragiro obimanyi: ‘Toyendanga; Tottanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba; Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiragiro obimanyi: toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.