Luke 18:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Okyabulwako kimu: Tunda by'olina owe abaavu, obugagga olibeera nabwo mu ggulu, ojje ongoberere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yawulira ekyo n'amugamba nti, “ Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Ekintu kimu ekikyakubulako okukola: tunda byonna by'olina, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu bwe yawulira n'amugamba nti Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.