Luke 18:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti mpaawo yaleka nnyumba ye, oba mukazi we, oba baganda be, oba baana be okubeera obwakabaka bwa Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti buli eyaleka ennyumba ye oba mukazi we, oba baganda be, oba bazadde be, oba baana be olw'Obwakabaka bwa Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda,