Luke 18:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kibuga ekyo era mwalimu ne nnamwandu eyajjanga gy'ali olutata ng'agamba nti: ‘Ntaasa omulabe wange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; eyajjanga ew'omulamuzi oyo, ng'agamba nti, Nnamula n'omulabe wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo ne nnamwandu mu kibuga ekyo, eyajjanga ew'omulamuzi oyo, n'agamba nti: ‘Lamula ontaase omulabe wange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; n'ajjanga w'ali ng'agamba nti Nnamula n'omulabe wange.