Luke 18:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'azza ebbali Ekkumi n'Ababiri n'abagamba nti: “Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu, byonna abalanzi bye baawandiika ku Mwana w'omuntu bijja kutuukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'atwala abo ekkumi n'ababiri (12) n'abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi ku Mwana w'omuntu birituukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'azza abayigirizwa be ku bbali, n'abagamba nti: “Laba twambuka e Yerusaalemu, era byonna ebyawandiikibwa abalanzi nga bifa ku Mwana w'Omuntu bijja kutuukirira:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwala abo ekkumi n'ababiri n'abagamba nti Laba, tulinnya e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi birituukirira ku Mwana w'omuntu.