Luke 18:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga balimuwaayo mu b'amawanga n'aduulirwa, n'aweebuulwa, n'affujjirwa amalusu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga aliduulirwa, aliswazibwa, aliwandirwa amalusu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ajja kuweebwayo mu b'amawanga amalala, abajja okumusekerera, bamuvume, bamuwandire amalusu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga, aliduulirwa, aligirirwa ekyejo, aliwandirwa amalusu: