Luke 18:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo ne batabaako kye bategeera mu ebyo; ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa; ebyayogerwa tebaabitegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa be ne batategeererawo ku ebyo n'ekimu n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be tebaalina wadde ekimu kye baategeera ku ebyo. Amakulu g'ebigambo ebyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera ky'abagambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo ne batategeerawo ku ebyo n'ekimu; n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa.