Luke 18:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali bakulembedde ne bamukomako, ne bamugamba asirike; naye ye n'aleekaana nnyo n'okusingawo nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “ Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye n'ayongera bwongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire.