Luke 18:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era yagerera abantu abamu olugero abaali beemanyi obutuukirivu nga banyooma abalala, n'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abalala abaali beerowoozako ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, Yesu n'abagerera olugero luno nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaali beerowoozaako okuba abalungi, nga banyooma abalala, Yesu n'abagerera olugero luno nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalala abaali beerowooza ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, n'abagamba olugero luno, nti