Luke 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bakyawuliriza ebyo, Yezu n'abagerera olugero, kubanga yali ayambuka e Yeruzaalemu, na bonna nga balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bwali buli kumpi okulabika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baawulira ebyo, Yesu ne yeeyongera n'abagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangwago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baawulira ebyo, Yesu n'ayongera okubagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemu, era kubanga baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bwa kulabika mangwago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baawulira ebyo ne yeeyongera n'agera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangu ago.