Luke 19:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka abantu be, bannansi, baali bamukyaye; ne bamugobereza ababaka nga bagamba nti: ‘Oyo tetwagala atufuge.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abasajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti, ‘Tetwagala oyo kutufuga.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ab'omu nsi ye baali bamukyaye. Ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti: ‘Tetwagala oyo kufuuka kabaka waffe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye basajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka ennyuma we, nga bagamba nti Tetwagala oyo kutufuga.