Luke 19:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe yadda ng'amaze okufuna obwakabaka, n'alagira okumuyitira abaweereza be yawa ensimbi ze, ategeere amagoba ge baggya mu kuzisuubuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, alyoke amanye amagoba ge bafuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo olwatuuka, bwe yakomawo ng'amaze okufuulibwa kabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, amanye bwe baasuubula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, n'alagira okuyita abaddu abo be yawa effeeza, alyoke amanye amagoba ge baasuubula.