Luke 19:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: ‘Weebale, omuweereza omulungi; kubanga wabeera mwesigwa mu bitono, onoofuga ebibuga kkumi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, ‘Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale on'oba n'obuyinza okufuga ebibuga kkumi (10).’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amugamba nti: ‘Weebale ggwe, omuddu omulungi. Nga bwe wali omwesigwa mu kintu ekitono, nnaakuwa obuyinza okufuga ebibuga kkumi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale ba n'obuyinza ku bibuga kkumi.