Luke 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Ssebo, mina yo yazaala mina ttaano.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'okubiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, siringi zo abiri (20) zaakola amagoba ga siringi kikumi (100).’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina ttaano.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja ow'okubiri ng'agamba nti Mukama wange, ensimbi zo abiri zaagobamu ensimbi kikumi.