Luke 19:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omulala n'ajja n'agamba nti: ‘Ssebo, mina yo gye wampa yiiyo; nagitereka eyo mu kiwero,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omulala n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, laba, siringi zo zino abiri (20) nnazisiba mu kiwero nnenzitereka:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“N'omulala n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, laba, ensimbi zo ze wampa, mina emu, ziizino. Nazitereka mu kiwero,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulala n'ajja n'agamba nti Mukama wange, laba, ensimbi zo zino abiri nnazitereka nga zisibiddwa mu kiwero: