Luke 19:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi, by'ogambye kwe nnaayima okukusalira omusango. Wali omanyi bwe ndi ow'olukaali, nga nnyanula kye saayanika, nga nkungula kye saasiga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, ‘ Akamwa ko ke kanaakunsaliza omusango, ggwe omuddu omubi. Wali omanyi nga ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, by'oyogedde kwe nnaasinziira okukusalira omusango. Wali omanyi nti ndi muntu mukakanyavu, atwala ekitali kyange, era akungula kye ssaasiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Akamwa ko kanaakunsaliza omusango, ggwe omuntu omubi. Wali omanyi nga nze ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga;