Luke 19:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mbabuulire, buli alina aliweebwa; naye atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbagamba nti, ‘Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo kyali nakyo kirimuggibwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu nti: ‘Mbagamba nti buli alina ebingi alyongerwako n'ebirala, ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbagamba nti Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo ky'ali nakyo, kirimuggibwako.