Luke 19:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso; nga mwakayingira, mujja kusanga akalogoyi akasibiddwa, akateebagalwangako muntu n'omu; mukayimbule, mukaleete.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gw’endogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'abagamba nti, “Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugiyimbule mugireete.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete