Luke 19:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wabaawo ababuuza nti: ‘Mukayimbulira ki?’ muddamu nti: ‘Omukama akeetaaga.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu bw'ababuuza nti, ‘Mugusumululira ki?’ Mumugambe bwe muti nti, ‘ Mukama waffe ye agwetaaga.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki mugisumulula?’ Muddamu bwe muti: ‘Mukama waffe agyetaaga.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'ababuuza nti Mugusumululira ki? mugambe bwe mutyo nti Mukama waffe ye agwetaaga.