Luke 19:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali basumulula akalogoyi, bannyiniko ne babagamba nti: “Lwaki musumulula akalogoyi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi, bannannyini gwo ne babagamba nti, “Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali nga basumulula endogoyi, bannannyiniyo ne babagamba nti: “Lwaki endogoyi mugisumulula?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi bannannyini gwo ne babagamba nti Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo?