Luke 19:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali asembera, ku kaserengeto k'Olusozi lw'Oliva, ekibiina ky'abayigirizwa kyonna ne kitandika okutendereza Katonda n'eddoboozi eddene nga bwe basanyuka olw'okubeera ebikolwa eby'amaanyi byonna bye baali balabye;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batandika okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate bwe yali ng'asemberedde Yerusaalemu, ng'aserengeta Olusozi olw'emiti Emizayiti, ekibiina ky'abayigirizwa be kyonna ne kitendereza Katonda n'eddoboozi ery'omwanguka nga kisanyuka olw'ebyamagero byonna bye kyali kirabye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batanula okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba;