Luke 19:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba nti: “Agulumizibwe oyo Kabaka, oyo ajja mu linnya ly'Omukama; emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ddala eyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!” “Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bagamba nti, “Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe waggulu ennyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kigamba nti: “Kabaka ono ajja mu linnya lya Mukama, atenderezebwe. Emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe eri Katonda Atenkanika.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bagamba nti Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ennyo.