Luke 19:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Singa nno otegeera yadde ku lwa leero luno ebiyinza okuleeta emirembe!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'agamba nti, “Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bw'agamba nti: “Singa ggwe omanya wadde ku lunaku luno ebyo ebireeta emirembe! Naye kaakano bikwekeddwa amaaso go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go.