Luke 19:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kaakano bikisiddwa amaaso go, kubanga ennaku zigenda kukujjira, n'abalabe bo lwe balikwetoolooza embibiro, ne bakutaayiza, ne bakunyigiriza ku njuyi zonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kirikutuukirira, abalabe bo ne bakuzimbako ekigo okukwetooloola, ne bakutaayiza. Balikuzingiza ku njuuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna,