Luke 19:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era ne bakuwuula ku ttaka ko n'abaana bo abakulimu; tebalireka ku ggwe jjinja ku linnaalyo, kubanga tewamanya budde bwe walambulirwamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikusaanyaawo awamu n'abantu bo abalisangibwa mu ggwe. Era mu ggwe tebalireka jjinja lizimbiddwa ku linnewaalyo, kubanga tewamanya kiseera Katonda kye yajjiramu okukulokola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.