Luke 19:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era yabeeranga bulijjo mu Kiggwa. Bakabona abakulu, abawandiisi n'abakulu b'abantu ne banyoonya amagezi ag'okumuzikiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yayigirizanga buli lunaku mu Ssinzizo. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, ne basala amagezi okumuzikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayigirizanga mu yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza: