Luke 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yatuukawo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zakkayo, kka mangu, kubanga olwa leero ndi wa kusigala mu nnyumba yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti, “ Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zaakayo, kka mangu, kubanga olwaleero nteekwa okuba omugenyi wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwaaidde okutuula mu nnyumba yo.