Luke 19:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baalaba, bonna ne beemulugunya nga bagamba nti: “Akyadde ew'omwonoonyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza, nga bagamba nti, “ Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna bwe baalaba, ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Agenze okukyala ew'omusajja omwonoonyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza bonna, nga bagamba nti Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi.