Luke 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kano ke kanaaba akabonero gye muli: munaasanga omwana omuwere, azingiddwazingiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ng’abikkiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: mujja kusanga omwana omuwere abikkiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kano ke kabonero gye muli; munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.