Luke 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago awaali malayika oyo ne wajjawo ekibiina kinene eky'eggye ery'omu ggulu, nga batendereza Katonda, nga bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago eggye lya bamalayika ab’omu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo amangwago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago awaali malayika oyo, ne wajjawo ne bamalayika abalala bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu. Ne batendereza Katonda nga bayimba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amangu ago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti