Luke 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamalayika bwe baamala okubaawukanako ne baddayo mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Beteleemu, tulabe ekigambo ekyo ekifuddeyo Omukama ky'atumanyisizzaako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama ky’atutegeezezza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti, “ Kale tugende e Besirekemu tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bamalayika bwe baamala okwawukana ku basumba, ne baddayo mu ggulu. Awo abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Betilehemu, tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti Kale tugende e Besirekemu tulabe ekigambo kino ekibaddeyo, Mukama ky'atutegeezezza.