Luke 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagendayo bunnambiro, ne basanga Mariya ne Yozefu n'Omwana omuwere azazikiddwa mu mmanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayanguwa ne bagenda, ne balaba Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagenda mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagendayo mangu, ne basanga Mariya ne Yosefu, n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.